Vidiyo

Agabuutikidde ne Rose Kigongo Ssemwanga

Abavuzi ba bodaboda e Mayuge beeraliikirivu olw’obubbi bwa pikipiki obususse. Mu kiro ekikeesezza olwaleero aba bodaboda babiri battiddwa mu bukambwe ne pikipiki zaabwe nezitwalibwa nga kati omugatte pikipiki 30 zezaakabbibwa mu myezi esatu. Poliisi etegeezezza ng’eggye lya UPDF bweryongedde okukola ekikwekweto ku bayeekera ba ADF mu bitundu by’e Kyankwanzi era baliko abantu babiri abakwatiddwa nga bateeberezebwa kubeera aba ADF. Ssaabaminisita Robinah Nabanja atade kuninga b'ekikwatako mu disitirikiti y'eSembabule okumubuulira lwaki ensimbi za PDM zikyalemedde ku akawunti.Kino kiddiridde okutuza olukiiko kyokka abantu ne bamuloopera nga bwebatannafuna ssente zino. Ddiini wa Lutikko y’omutukuvu Paul e Namirembe asabye abantu bulijjo okwetegekera okufa kubanga kwa buli omu.Abadde mu kusabira omubiri gw’omugenzi Henry.KM KYemba. Emisinde obulwadde bwa mukenenya kwebutambulira mu bawala abavubuka gweraliikirizza abakwatibwako.Bino akakiiko akalwanyisa akawuka mu ggwanga aka Uganda aids commission kabibuulidde bannamawulire ku media center wano mu Kampala. Ababaka ku kakiiko ka Paalamenti akalondoola ensasaanya ya ssente za gavumenti ez’ebitundu katandise okwekenneenya enkola eya Parish Development mu bütündü by’e Karamoja nga disitulikiti emu yokka y’erimu emiruka egyakazifuna. Obwakabaka bwa Kong mu ggwanga lya Ghana butongoza enkolagana n'olulyo Olulangira mu Bwakabaka bwa Buganda okusobola okutumbula eby’obuwangwa n’ennono ez’omudugavu. Endagaano eruubirira n’enkulaakulana endala nnyingi omuli okutumbula ekirime ky’emmwannyi. Omukolo gubadde Ghana. Minisita ow’ebyenjigiriza eby’amatendekero aga waggulu Dr.JC Muyingo asabye abasajja okusigala nga bakuuma ekitiibwa kyabwe ne yennyamira olw’abawasibwa abakazi.Abyogeredde ku kyalo Vumba bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’omuyizi gweyaweeredde ku nkola ya BEF eyatikkiddwa obusawo. Bannakibiina kya FDC bawabudde bannaabwe abooludda oluwabula gavumenti okukozesa eddoboozi ery’awamu okugisaba okuta abantu bonna abakwatibwa olw’ebyobufuzi.Bino babibuulidde bannamawulire mu lukungaana olutuuziddwa ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi mu Kampala. Ssaabalabirizi eyawummula Henry Luke Orombi asabye abafumbo bulijjo okubeera abagumikiriza newankubadde waliwo ebibasoomoza. Abyogeredde mu kusaba abafumbo Dr Dan Kizito ne mukyalawe Dorothy kwe beebalizza katonda eyabasimattusa abatemu. Israel eyongedde okuloza ku bukambwe bwa Hamas bwebagezezzaako okuyingira mu Gaza ku ttaka, aba Hamas ne bakuba ekimotoka kyabwe ekirwanyi n’efiiramu abajaasi babiri. Ku nsalo ya Lebanon ne Israel nayo obunkenke bweyongedde olw’abalwanyi ba Hezibollah abeesomye.

Agabuutikidde ne Rose Kigongo Ssemwanga
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Tags:
Agataliikonfuufu
agabuutikidde
New Vision