Gavumenti ng’ekolagana ne kkampuni y’aba Russia eya Joint Stock Company - Global Security etongozza number plate empya mwetadde akuuma ka buli wendi nkulaba giyite tracker. Eno y’emu ku nkola egenda okuyambako okulwanyisa obumenyi bw’amateeka n’obubenje. Mu kutongoza enteekateeka eno, minisita w’eby’entambula n’emirimu Gen. Katumba Wamala agumizza bannayuganda nti obuuma obussiddwa mu nnamba puleeti tebugenda kubamalako Mirembe. Gavumenti edduukuridde essomero lya kasaana junior School eryafiiriddwa abayizi 7 omuliro ogwavudde ku masannyalaze bwekwatudde ekusulo. Buli ffamire eyafiiridde eweereeddwa obukadde 5 nga n’essomero liweereddwa obukadde 50 okutereeza ekisulo. Zitwaliddwayo omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyenjigiriza Ketty Lamaro. Eggye lya UPDF liriko abayeekera ba ADF bebasse nga bamu beebamu ku baakola obulumbaganyi ku balambuzi abaali baakafumbiriganwa ne babatta mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park. Bano babattidde ku Lake Edward. Omulamuzi wa kkooti ewozesa emisango gya bakalintalo e Kololo Susan Okalany asibye abaali abayekera ba ADF bana emyaka musanvu oluvanyuma lw'okukiriziganya ne government nebakirizza emisango. Ye munnaabwe omu akyakalambidde ku ky'okukirizza emisango 9 egimuvunaanibwa. Yasin Ndidde omumyuka wa RCC e Kawempe alabudde bannakibiina kya NUP obutetantala kuggulawo ekitebe kyabwe olunaku lw’enkya kubanga omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okulambula ekitundu ekyo. Omubaka wa munisipaali y’e Mityana Francis Zzaake agaaniddwa okuyingira woofiisiye eyobwakomisona newankubadde kkooti yasalawo nti yagobebwa mu bukyamu. Zzaake abadde awerekeddwako bannamateekaabe yeerayiridde nti ssinga tewabaawo kikolebwa waakwasa ebyama ku biri mu woofiisi z’abakomisona. Bibadde ku palamenti olwa leero nga zzaake yagobebwa mu palamenti olw’enneeyisa.