Abantu abatannategeerekeka abasudde emirambo ebiri mu mulyango oguyingira ekitebe kya town coucil y’e Luweero mu kiro ekikeesezza olwaleero.Embeera eno esattizza abaliraanye ekitebe kino. Entambula esanyaladde ku luguudo oluva e Busega okudda e masaka ekitundu ku luguudo mu kitoogo ekyawula Kyengera ne Busega bwekyekutuddemu ne kigwamu. Minisita w’eby’enguudo n’entambula Gen Katumba Wamala ategeezezza nti mu kiseera kino beetaaga obuwumbi 580 okuddaabiriza enguudo zonna ezonoonose mu ggwanga. Ebitongole by'eby'okwerinda ebirwanyisa ebikolwa eby'ekitujju biriko omuntu omu gwe bikutte oluvanyuma lw'okusanga ebintu ebikozesebwa mu kukola bbomu enjigirire. Ono bamukwatidde mu bitundu eby’e Kikaaya- Bulenga gyebabadde basula. Ebula wiiki ntono ddala Uganda etuuze enkungaana okuli olwa NAM ne G77 nga zino zisuubirwa okutuuzibwa mu January w’omwaka ogujja ku Speke Resort e Munyonyo.Kyokka ezimu ku nguudo ezigatta ku luguudo olw’entebe mu ggombolola ya Makindye ssaabagabo ziri mu mbeera mbi ddala nga n’ababaka bazirambudde ne bakakasa bino. Abadde yefuula omusawo mu ddwaaliro lye Bukasakya Healthy centre IV mu kibuga ky’e Mbale akwatiddwa n’atuuyana. Pulezidenti Yoweeri Museveni akaalatidde abayizi okwewala sente ezaamangu ezinaabasuula mu ntata.Bino bibadde mu bubaka obumusomeddwa omumyukawe Rtd.Maj.Jessica Alupo ku matikkira ag’omulundi ogwa 19 aga yunivaasite y’e Kyambogo. Minisita ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Dr,Joyce Moriku Kaducu ng’ali n’omuwandiisi ow’enkalakkalira Kate Lamaro balambudde abayizi abakola ebigezo by’abasawo abazaalisa ebitegekebwa ab’ekitongole kya UNMEB. Omumyuka wa saabawandiisi w’ekibiina kya NRM Rose Namayanja agguddewo olukungaana lw’abavubuka olugenda okumala ennaku nnya nga luyindira ku ssomero lya Kasasa SS. Akulira abakozi ba gavumenti era omuwandiisi wa kabineti Lucy Nakyobe Mbonye atadde ku ninga obukiiko obugaba emirimo gya gavumenti okugoba abantu Pulezidenti babawereza okubawa emirimo singa bakizuula nti tebalina bisaanyizo.Agamba okwekkiriranya ku bakozi ab’ekika kino kuviiriddeko empeereza y’emirimu okuzingama mu bitongole bya gavumenti.