Omubaka wa papa Uganda eyawummula Ssaabasumba Augstine Kasujja alabudde abantu abamala gamansamansa kasasiiro nabakubirizza okukuuma obutonde.Abyogeredde mu misa ya ssekukuulu gyakulembeddemu ku St. Kaloli Lwanga Ggaba parish mwatongolezza n'okugulawo esakirisitiya bafaaza gyebambalira.