Gavumenti eyanjudde enteekateeka z’okukuza olunaku lw’ameenunula olunaabeerawo nga 26/01 ng’abantu 53 bebagenda okuweebwa emidaali. Minisita w’ensonga z’obwapulezidenti okukakasa bino asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku media center wano mu Kampala.