Abantu abali mu mulimu gwokusima ebyobugagga eby’omuttaka basabye gav’t ebayambe okuzuula ekirungo ekirala ekisobola okweyambisibwa mu mulimu gwabwe. Bagamba okuva ekya Mercury lwekyawerebwa tebakola. Babyogeredde ku Hotel Africana nga baggulawo olutuula lwabwe olwokumala ennaku ebbiri.