Mu kawefube w'okusisinkanako ne Bannayuganda bebakolagana nabo mu mpereza, bategese olukungaana okutema empeenda ku mpereza n'okwongera omutindo ku bikolebwa mu kitongole ekibunyisa amasannyalaze mu bantu. Bakowoola abalina okuwabula, ebibuuzo, ssaako okwemulugunya nti mwenna mujje bigonjoolwe.