Ababaka bakunyizza aba Minisitule y'ekikula ky'abantu

Edith Namayanja
Journalist @Bukedde
Apr 12, 2024

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’omuwi w’omusolo mu bitongole bya gavumenti bakunyizza abakulu okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu wamu n'abakozi olw’okulemererwa okwanjula omusolo ogukunganyizibwa okuva mu buwereza obuweebwa ebitongole bya gavumenti (NTR)  gwa kawumbi kamu n’ekitundu.

Munsisinkano abakulu bano nga bakulembeddwa omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule Aggrey David Kibenge n’akakiiko kano akakubirizibwa omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi, kizuuliddwa nga mu mwaka gw’ebyensimbi 2022/23, bano bayanjulira gavumenti obuwumbi 14 n’obukadde 800 nga ate bakungaanya obuwumbi 16 n’obukadde 3oo.

Bannayuganda 149,067 bebagenda ebweru okukuba ekyeyo era nga wano minisitule yali yakukungaana obuwumbi 16 n’obukadde 300 ku makampuni agatwala abantu, agasomesa abantu kwosa ago agali eyo gyebakolera.

Akakiiko era kakizudde nga minisitule yafuna emisngo 603 okuva mubakozi abagenda okukuba ekyeyo wabula nga ku jino, 356 gyokka gyegyakolebwako nga 274 gikyatudde.

Mukwewozaako, Kibenge agambye nti omuwendo ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti gyeyalambika gwawukaana n’ogwabwe gwebalina era nasuubiza okuleeta omutuufu olw’okubalirira okulambulukufu.

Akakiiko kakuyita ekitongole kya URA kwosa ekivunanyizibwa kubafuluma eggwanga (Immigration) wamu ne minisitule eno okukakasa omuwendo omutuufu ogwa bannayuganda abafuluma eggwanga mu mwaka ogwogerwako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});