Sipiika Annet Anitah Among asekeredde gavumenti ya bungerezza eyamutaddeko envumbo yobutaddamu kulinnya lwa kigere mu gwanga lyabwe nga nebyobugaga bye byalinayo bwatakyasobola kubifuna. Ono agamba nti bino byonna sibyakumuyigula ttama kuba bino byekwaso kubanga yakulemberamu ababaka ba palamenti nebayisa etteeka erikugira omukwano ogw’ekikula ekimu.