Poliisi ekutte 70 ku by'okunyaga n'okulugunya abantu ku Northern by pass

Godfrey Kigobero
Journalist @Bukedde
May 11, 2024

ABAVUBUKA abasoba mu 70, abagambibwa okwenyigira mu kunyaga n'okutulugunya abantu ku luguudo lwa Northern by pass, bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa.

Ebikwekweto bino, bikoleddwa mu Kimbejja, e Namugongo, Kyaliwajjala, Nalya, era ne babaggalira ku poliisi ya Kira Division .

Kiddiridde okwemulugunya kw'obubbu obubadde buzzeemu ku luguudo olwo, omuli okukubisa ppeeva, okufumita abantu ebiso, okubakwata obubadiya ne babanyaga.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, agambye nti bakyagenda mu maaso n'okuyoola abalala.

Owoyesigyire, ayongeddeko nti nga twetegekera okulamaga e Namugongo nga June 3rd, ebikwekweto byakugenda mu maaso okusobozesa abalamazi okuyita obulungi mu kiseera ekyo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});