Obujjanjabi obusookerwako okugoba olusu mu nnyindo

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
May 14, 2024

ABANTU bangi abafuna ekizibu ky’olusu oluva mu nnyindo zaabwe. Ebintu bingi ebivaako embeera eno omuli obulwadde bw’ekiwanga, ebika by’emmere n’ebyokunywa ebimu omuli katunguluccumu, kaawa, emmere ensiike ennyo n’ebirala.
Obulwadde obutawaanya sisitiimu y’okussa, nabwo buleeta ekizibu kino, kw’ossa obuwuka obubeera mu kamwa ne mu mannyo.
Omukutu gwa https://www.medicalnewstoday. com, gugamba nti waliwo by’osobola okukolera awaka ne wejjanjaba ekizibu kino.

l Fumba amazzi, ogalinde gawolemu katono. Funako amatonotono otabulemu ekigiiko
ky’omunnyo kimu n’ekya Soda bicarbonate, akozesebwa nga bakanda ebyokulya by’ehhano, obitabule wamu, naye ng’amazzi gakyalimu akabuguma.

l Naaba engalo zo n’amazzi ne ssabbuuni. Bw’omala osene ekigiiko okuva mu bintu bye
watabudde, oteeke mu kibatu kyo ekimu, otandike okunuusa.

l Kikola bulungi singa osooka n’ozibikirako ekituli ky’ennyindo ekimu ng’okozesa olugalo lwo, n’onuusa, n’omala n’ozibikira ekirala era n’onuusa, okusobozesa eddagala lyo okusensera obulungi mu nnyindo. l Kino kikole okumala emirundi etaano. Buli lunaku olina okutabula ebintu bipya nga bw’onuusa.
l Ekirala ekiyamba kwe kweyoteza. Okweyoteza kuyamba okugoba olusu mu nnyindo era
kyettanire.
l Okunywa ennyo amazzi nakyo kiyamba okwoza omubiri, n’ogoba olusu mu kamwa n’ennyindo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});