Sentebe w’akakiiko akalondoola ensimbi z’omuwi w’omusolo Mohammed Muwanga Kivumbi awaliriziddwa akuwereza akulira ekifo webajjanjabira obulwadde bwa kkookolo Dr Jackon Orem ne banne basatu eri poliisi ya palamenti oluvanyuma lwokukitegeera nga bwewaliwo obulagajjavu ku ddwaliro lino ebyuma ebimaze emyaka musanvu nga tebikozesebwa kyebagambye nti buno bulagajjavu obw’ekika ekya waggulu ekiviiriddeko abantu bangi okufa