Beewaanye bwe bakyusa essimu enzibe poliisi n’ebakwata

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
May 15, 2024

ABAVUBUKA abaakutte akatambi ne bakasaasaanya ku mitimbagano ng’omu yeewaana nga bw’ali kafulu mu kukyusakyusa essimu eziba zibbiddwa, poliisim ebanywezezza.
Abakwatiddwa kuliko; Saviour Guma nga ono ye yabadde mu katambi nga yeewaana okukyusa amasimu agabbiddwa ku bantu. Omulala ye Clever Ssuuna eyamukutte akatambi ne bakasaasaanya.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano, Patrick Onyango yagambye ti Guma muyizi mu ttendekero ly'ebyempuliziganya erya Uganda Institute of Information
and Communication Technology e Nakawa. Akatambi kaamulaze nga yeewaana nga bw’ali kafulu mu kukyusa ebikwata ku masimu agaba gabbiddwa ne bagamuleetera.
Onyango yagambye nti akatambi kano kaakwatiddwa ku Mmande nga May 13, 2024 era Guma yalaze ensawo mw’aggya essimu z’agamba nti zaabadde nzibe.
Emu yagambye nti baabadde baakagimutuusaako nga baginyakudde era n’alaga n’engeri gy’azikyusakyusa nga nnyiniyo ne bw’agezaako okuginoonya ng’akozesa
‘serial number’ aba tasobola kugifuna kuba gy’asooka okutaataaganyam ng’akozesa tekinologiya.
Abaserikale okuva mu kitongole ekikessi bwe baalabye akatambi kano
ne batandika okunoonyereza kwe kuzuula abavubuka bano nga baabakwatidde ku ttendekero e Nakawa gye basomera. Wabula olwatuusiddwa ku poliisi baategeezezza nga bye baakutte ku katambi bwe bitaabadde bituufu nga baabadde bagenderera kufuna babagoberera (followers) ku mitimbagano naddala
ogwa tiktok. Wabula kino tekyabataasizza era poliisi yabagguddeko emisango okuli okukozesa obubi kompyuta n’okwefuula ekitagasa kuba mu katambi kano
baazannyidde ku birowoozo n'okutiisa abantu naddala abo ababbiddwaako
amasimu gaabwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});