Omwepiskoopi Kirabo Ayagala Ab’ekiibiina ky’Okwezza Obujja Bongere Amaanyi mu butume Bwabwe
Jul 04, 2024
Olukungaana lwa Bannakibiina kya Klezia Katolika eky’okwezza obujja oluyindira kukiggwa ky’Abajulizi e Namugongo lweyongeddemu ebbugumu. Abantu okuva mu bitundu bya Uganda eby’enjawulom n’amawanga amalala, beeyongedde okujja.

NewVision Reporter
@NewVision
Olukungaana lwa Bannakibiina kya Klezia Katolika eky’okwezza obujja oluyindira kukiggwa ky’Abajulizi e Namugongo lweyongeddemu ebbugumu. Abantu okuva mu bitundu bya Uganda eby’enjawulom n’amawanga amalala, beeyongedde okujja.
Missa y’oku Lwokusatu yayimbiddwa Omwepiskoopi w’essaza ly’e Hoima, Omutiibwa Vincent Kirabo ey’asabye Bannakibiina okw’ongera amaanyi mubutume bwabwe obw’okulangirira Evanjiri ya Kristu n’okusaasaanya Obwakabaka bwe
“Katonda abatuma mugende mukyuse embeera z’abantube ngamulangirira Evanjiri. Tulaba ebintu bingi nnyo ebitali birungi, ebikuumidde abantu ba Katonda mubusibe bw’ekibi, okugeza obutabanguko n’obutali bwesigwa mumaka, obuseegu, ekibba ttaka, obutafaayo kuyiga nakukwata kigambo kya Katonda, okululunkanira eby’obuggagga, abazadde okulagajjalira abaana, n’ebintu ebirala bingi ebireetedde abantuu ennaku
Okuyimba mmisa
. Mulina okusaba ennyo Katonda atusindikire Mwoyo Mutuukirivu atuwe amaanyi n’amagezi okulwanyisa n’okuvvuunuka ebizibu bino,” Omwepiskoopi Kirabo bweyategeezezza.
Mmisa eno yateekeddwateekeddwa Bannakibiina ky’okwezza obujja abava mu Pulovinsi ya Klezia Katolika ey’e Mbarara.
No Comment