Eyalaama okumuziika mu ntaana eya ffuuti 15 abakungubazi obudde bubazibyeko nga bakyamumalirako ttaka!

Aziikiddwa ku ssaawa 11:17 ez'olweggulo wabula abatuuze obudde bubazibyeko nga bakyazzaako ttaka ku ntaana olw'obuwanvu bw'ebaddeko.

Eyalaama okumuziika mu ntaana eya ffuuti 15 abakungubazi obudde bubazibyeko nga bakyamumalirako ttaka!
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kiraamo #Kabaka #Bugerere #Mugerere Ssempiga

Enziika y'Omwami w'essaza lya Kabaka ery'e Bugerere eyawummula, James Ssempiga erese abakungubazi banyeenya mitwe!

Aziikiddwa mu ffuuti 15 n'embugo 100 era yalaama entaana ye obutassibwako sseminti omu ku bawala be n'awa obujulizi nti bo mu kika ky'emmamba eyo y'enziika y'abataka era nti ono ssi y'asoose.

Omugenzi Ssempiga Eyali Mugerere Eyaziikiddwa Mu Fuuti 15 N'embugo 100.

Omugenzi Ssempiga Eyali Mugerere Eyaziikiddwa Mu Fuuti 15 N'embugo 100.

Mugerere Ssempiga afiiridde ku myaka 70 era aziikiddwa mu maka ge ku kyalo Ntooke mu ggombolola y'e Kayunga mu disitulikiti y'e Kayunga.

Abaasitudde omulambo okugutwala e magombe nga baanekedde mu makanzu nga bwe yalaama; n'abaagutaddeyo mu ntaana entuuyo zibattulukuse ne bazisaza bibatu olw'obuzito bwagwo era kabadde katuubagiro nga azina n'owenkufu.

Omugenzi Ssempiga ku bye yalaama kubaddeko okumuziika mu ntaana bwaguuga ya ffuuti 15 obuwanvu okukka wansi ate obugazi fuuti ttaano ku kkumi (5×10)

Bannadiini Nga Balingiza Mu Ntaana Eyabadde ey'ebyewuunyo

Bannadiini Nga Balingiza Mu Ntaana Eyabadde ey'ebyewuunyo

Okuziika kuno kusitudde ebikonge okuva e Mengo okuli abaami ab'amasaza, baminisita  abaakulembeddwa sipiika w'olukiiko Luwaga Mugumbule era nga ono y'akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga n'asoma obubaka bwe.

Abalala bavudde mu gavumenti eya wakati okubadde Baminisita Gen. Edward Katumba Wamala ow'ebyemirimu n'entambula, Amos Lugoloobi omubeezi avunaanyizibwa ku kuteekerateekera eggwanga Amos Lugoloobi n'abalala.

Sipiika Wa Buganda, Luwaga Mugumbe Ng'asoma Obubaka Bwa Katikkiro.

Sipiika Wa Buganda, Luwaga Mugumbe Ng'asoma Obubaka Bwa Katikkiro.

Ssempiga yafa ku ntandikwa ya wiiki eno era nga n'okuwummuzibwa ku Bwamugerere yali asindikiddwa kufuna bujjanjabi.

Okusaba kukulembeddwa Abalabirizi Enos Kitto Kagodo owa Mukono, owa Central Uganda eyawummula Jackson Matovu, Bassaabadinkoni ne Bannaddiini abalala.

Aziikiddwa ku ssaawa 11:17 ez'olweggulo wabula abatuuze obudde bubazibyeko nga bakyazzaako ttaka ku ntaana olw'obuwanvu bw'ebaddeko.