Vidiyo

Ababbooda bataayizza gwe bateeberezza okubba ppiki ne bamukuba ne bamutta

Abavuzi ba bodaboda ababadde abakambwe bataayizza omusajja gwe bateeberezza okuba ng'aludde ng'ababbako ppikippiki ne bamukuba ne bamutta.

Ababbooda bataayizza gwe bateeberezza okubba ppiki ne bamukuba ne bamutta
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abavuzi ba bodaboda ababadde abakambwe bataayizza omusajja gwe bateeberezza okuba ng'aludde ng'ababbako ppikippiki ne bamukuba ne bamutta.

Bino bibadde ku kyalo Butambuza mu ggombolola y'e Nyimbwa e Luweero, aba bodaboda bwe bagobye Fazil Otembi 43, okuva ku mmayiro 21 e Bombo ne bamuttira mu kifo ekyo.

Bamulumiriza okubeera emabega w'obubbi bwa pikipiki era nga kigambibwa nti baludde nga bamunoonya, oluvannyuma lwa pikipiki bbiri okubbibwa e Bombo.

Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Twineamazima, ategeezezza nti ababbooda bwe bamulengedde, kwe kumusimbako nga bwe bakuba enduulu n'eng’ombe , ne bamukwatira e Butambuza  ne bamukuba ne bamutta.

Agasseeko nti omulambo bagututte mu ggwanika ly'e ddwaaliro e Luweero, ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

Tags:
Vidiyo
Babbooda
Ppiki
Kutta
Bbooda
Kutaayiza