Kasalabecca: Yenze Sebatta wa leero, ngenda kukola ebyafaayo mu ndongo eno. - Aligaweesa

May 15, 2025

Sebatta wa leero, ngenda kukola ebyafaayo mu ndongo eno.

NewVision Reporter
@NewVision

Jjumba Lubowa Aligaweesa ne Nabakooza Nezia ekisaawe ky’okuyimba bakiyingidde na maanyi.
Nga kabajje bamale okufulumya vidiyo z’enyimba 30 omulundi gumu ekintu ekitabaangawo mu byafaayo by'okuyimba e Uganda. Basazewo okugenda e Bulaaya okutalaga amawanga ag’enjawulo nga bwe bebuuza ku ba pulodyusa n’abakugu ab’enjawulo ku ngeri gyebasobola okuyitimusa myuziki wabwe n’abeera ng’owa banigeria.
Banno kusookera Manchester ekisangibwa e Bungereza oluvanyuma boolekere amawanga amalala nga bwebakola emirimu gyabwe emirala wamu n'okutambuza myuziki wabwe.
Ababiri banno bali bamanyiddwa mu bintu birala nnyo kyokka ng’essaawa eno bakyusa obwanga nebabwolekeza ekisaawe ky’okuyimba nga Jjumba abawagizi bamukazaako lya Sebatta wa leero.
Mu lugendo lwe olw'okuyimba Jjumba afulumiza Album5 okuli; ZUKUUKA AFRICA," "AMAKA NE NONO," "OBUGANDA," "OBULAMU BWE NSI," ne "OMULANGIRA BAM. Yatandiikawo situdiyo ya Bam Records esobola okumuyamba mu myuziki wamu n'okuyamba abayimbi abalala.
Jjumba ne Nezia bagamba enyimba zabwe bateekamu obwongo n'obudde bungi kuba badiyagadde okuleka omukululo ogw'amaanyi.Jjumba Lubowa Aligaweesa ne Nabakooza Nezia.

Jjumba Lubowa Aligaweesa ne Nabakooza Nezia.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});