Ng’ebula ennaku 11 zokka okutuuka ku kivvulu ky'abaana ekya Toto Christmas Festival ekitegekebwaVision Group, ebbugumu lyeyongedde mu masomero ng'abaana bonna beesunga kubeera eyo.

Abaana b'e Namugongo abeesunze okujja mu Toto
Ab’e Namugongo Girls Primary School, baabadde basanyufu okulaba ku ttiimu ya Toto ng’etuuse ku ssomero lyabwe.
Nampiima yabannyonnyodde ebigenda okubeerayo era n’abakwasa obupapula bwe baasabye n’abakunga bonna okujja mu bungi nga December 7 ku kisaawe ky’essomero lya Kampala Parents banyumirwe emizannyo, okuwuga, okusiiga ffeesi, bouncing castles, okuzina, okuwangula ebirabo n’ebirala bingi.
Abaana bwe baawulidde nti waliyo n’okuwangula ebirabo kw’abo abalina ttalanta z’okuzina n’okuyimba ne bafa essanyu.
Ekivvulu kino kitegekebwa Vision Group ne kissibwamu ssente aba Indomie Instant Noodles Uganda, Pepsi, Toyota Uganda ne Ruparelia Group.
Akulira essomero lino, Josephine Nabwami yategeezezza nti abayizi beesunze nnyo era n’ategeeza nga bwe kiri ekirungi kubanga kibajjukiza ku kuzaalibwa kwa Yesu n’ebyo ebikolebwa ku kujaguza ssekukkulu.
Yasabye abazadde okutwala abaana baabwe mu bungi mu kivvulu ng’okuyingira kujja kuba kwa 10,000/= zokka ate abazadde abanajja n’abaana baakuyingirira bwereere.