OMUVUBUKA avudde mu mbeera, n'atema mukazi we ebiso ebimusse n'omusajja gw'abadde ateeteera naye, n'amutemako engalo bbiri.

Nkurunziza eyasse mukazi we
Kitegeezeddwa nti, bano bombi nzaalwa y'e Rwanda era nga babadde bakolera mu kitundu ekyo, emirimu gya lejjalejja.
Kigambibwa nti bino okutuukawo, Nkurunziza , yamaze kufuna mawulire, nga mukazi we ono ow'abaana abasatu, bwe yabadde apepeya n'omusajja omulala mu bbaala emu mu kitundu .
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti , yabase ejjambiya wakati mu busungu, n'abalumba mu bbaala, n'atema omukazi ebiso ku mutwe n'omusiguze n'amutemako engalo bbiri.
Ayongeddeko nti omukyala , baasobodde okumuddusa mu ddwaaliro gy'afiiridde enkya ya leero, era Nkurunziza bamukutte, akuumirwa ku poliisi e Kyankwanzi, nga bamuguddeko ogw'obutemu.