Minisita w’eby’enjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asabye abavubuka okukubiriza bannaabwe okwenyigira mu kulonda n'okukuuma eddembe. Okwogera bino First Lady abadde ku mukolo gw'okusaba era kw'atongolezza ekibiina ki Bakhaana Bamasaaba Association, ku kisaawe e kololo.