Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’ali wamu ne First Lady bagguddewo ekisaawe kya Hoima City Stadium mu kibuga Hoima nga kino kye bawadde bannayuganda ng’ekirabo kya Ssekukkulu. Ekisaawe kizimbiddwa ku yiika 40 nga twetegekera okukyaza empaka z’omupiira eza AFCON 2027.