Ono asambazze ebizze byogerwa nti mutabani we abadde yasimba amakanda ewaabwe w’omuwala n’asambajja n’ebyayogeddwa difensi w’ekyalo nti baatuulako mu nsonga z’abaana bano. Ono yeebazizza Poliisi olw’okukwata Herbert Lumu Musaasizi nga kati asabye be kikwatako okumuyamba okufuna obwenkanya.