Abasuubuzi be baamenyedde emidaala mu katale ka St. Balikudembe akamanyiddwa ennyo nga Owino olwaleero bakedde kwegugunga okulaga obutali bumativu bwabwe. Bawakanya eky’okubaggalira omulyango oguyingira n’okubamenyera kaabuyonjo nga kati beekuniza nga mafumbe!