Etteeka ly'omubaka lumu ery'okulonda akulira oludda oluvuganya mu palamenti likomyewo buto
Etteeka ly’omubaka Richard Lumu mw’ayagalira ebibiina by’oludda oluvuganya ebirina ababaka mu Palamenti okwetaba mu kulonda akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti likomyewo.
Olukangaga okuli ebintu Palamenti by’egenda okukolako ng’ettudde ku Lwokuna lwa wiiki eno, ensonga nnamba 11, lye tteeka lya Lumu ery’okukola ennongoosereza mu tteeka erirung’amya entambuza y’emirimu mu Palamenti erya Administration of Parliament Act.
Lumu mu buwaayiro bwe yateeka mu tteeka lino, kuliko eky’okuwa ababaka bonna ab’oludda oluvuganya obuyinza okwetaba mu kulonda abakulira mu Palamenti, wabula ng’ekibiina ekisinze ababaka abangi ku ludda oluvuganya kye kireeta amannya g’abantu basatu, bo ababaka ne bakuba akalulu, asinze n’abakulira.
Wabula akawaayiro kano kaliko okusika omuguwa okw’amaanyi, nga bannabyabufuzi naddala abava mu kibiina kya NUP, bagamba nti kano kakodyo ka gavumenti okunafuya oludda oluvuganya, okuyita mu kuba n’omukono ku ani alina okutwala ekifo kino.
Era NUP egamba nti ssinga wabaawo akalulu, ebya Uganda nga bwe biba, wasobola okubaawo okugulirira ababaka n’ekigendererwa eky’okubasendasenda balonde omuntu gavumenti gwewuliriramu emirembe.
Lumu era mu biteeso bye ayagala ofiisi y’akulira oludda oluvuganya gavumenti ebeeko omutemwa gwa ssente ogugiteekebwamu, agirimu abeere n’obusobozi okudduukirira ku bannayuganda n’okubawagira mu bye bakola.
Era ayagala omuntu akutte eky’okubiri mu kalulu k’obwapulezidenti ayingire butereevu Palamenti ssinga abeera afunye obululu obuweza ebitundu 50 ku 100 ku bw’oyo abeera awangudde.
Palamenti ey’awamu egenda kukubaganya ebirowoozo ku tteeka lya Lumu lino, era esalewo oba eriyisa oba erigaana.