Enkalu zeeyongedde ku by’okuziika omugagga w’e Masaka n’abaana be abaafiiridde mu kabenje olunaku lw’eggulo. Entabwe evudde ku booluganda okwagala abagenzi baziikibwe ku kijja ky’ekika so nga ye Namwandu ayagala baziikibwe ku kyalo gye babadde bazimba enju empya.