Ng’esigadde ennaku mbale tujaguze amazaalibwa ga Kabaka ag’e 71, tuwayizzaamu n’omutaka Namwama akulira ekika ky’abekkobe. Ono atubuulidde obuvo n’obuddo bw’ekika kino nga bakola emirimu egy'enjawulo okuli n’okubeera mu kifo awaaterekebwanga abalangira n’abambejja nga baseeredde.