Gavumenti etandise okwekenneenya amannya g’abazadde abaafiirwa abaana baabwe mu bulumbaganyi obwakolebwa abayeekera ba ADF ku ttendekero lya Kicwamba Technical College basobole okuliyirirwa. Kiddiridde ekiragiro kya Pulezidenti nti buli ffamire eyakosebwa mu bulumbaganyi guno eweebwe obukadde 15.