Obwakabaka nga buyita mu mumyuka Katikkiro asooka Hajji Prof. Twaha Kigongo Kaawaase bukwasizza mu butongole omukung'aanya w’olupapula lwa Bukedde n’akulira ebivvulu mu Vision group Phiona Tamale emijoozi okutandika okujitunda eri abantu ba ssaabasajja basobole okwetaba mu nteekateka eno.