Akulira abalamuzi ba kkooti enkulu Jane Francis Abodo agguddewo kkooti enkulu e Rakai n’asaba abalamuzi okusookanga okukola okunoonyereza okumala nga tebannasalira bantu misango abantu basobole okufuna obwenkanya. Kkooti egguddwawo yaakukola ku disitulikiti y’e Kyotera ne Lyantonde.