PHEOBE K. azadde omwana mulenzi era abamukulisa bamuyozaayoza okuzaala ng’atobeka anti omwana gwe yasookerako muwala.
Ono ne bba Nzorah, beefuze omutimbagano ng’abawagizi baabwe babakulisa.
Pheobe K. wa maanyi ku Tik-Tok nga yatandika okussaayo vidiyo, bwe yali ku kyeyo mu Buwalabu ng’akola nga Kadama.
Yadda ku butaka mu Uganda n’akolako ne ku Bukedde TV nga kati ali mu biziensi