Baddereeva ba ttakisi abavuga enkadde ku nguudo ez’enjawulo mu Kampala w'olabira bino ng’emitima gibasula ku mitwe oluvannyuma lwa minisita Fred Byamukama okutegeeza nga bwe bagenda okugobwa. Kyokka bano bakukkulumye nti nabo baagala okuvuga ku mmotoka empya naye ebbeeyi yaazo eri waggulu, so nga ne takisi zino enguudo ezirimu ebinnya ze zaazikaddiya.