Omwana ow'emyaka 5, atomeddwa mmotoka ebadde ku misinde emingi n'emuttirawo .
Ddereeva w'emmotoka eno, akwatiddwa ne bamuggalira kyokka oluvannyuma n'ayimbulwa ku kakalu ka poliisi.
Attiddwa, ye Shanita Nabakiibi agambibwa okuba ng'abadde asala luguudo okudda ewaabwe ku kyalo Kawanda e Lwamata mu disitikiti y'e Kiboga.
Mmotoka egambibwa okumutomera eri nnamba UAU 896U Pajero era nga ddereeva waayo Daniel Mutumba akyabulirizibwako okuzuula ekituufu ekibaddewo.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lameck Kigozi, asabye abazadde okwewala okutuma abaana abato okusala ekkubo nga tebalina muntu mukulu abawerekerako.