Abasomesa mu masomero aga pulayimale e Kayunga bajjumbidde okugulira abayizi ebigezo bya P.7 ebya mmooko (Pass PLE) ebifulumira mu Bukedde ne bamutendereza bw’ayamba ennyo abayizi.
Omu ku baddukanya essomero lya Canan junior School Sarah Naiga yatugambye nti ebigezo bino bitumbudde ensoma y’abayizi era kati bayitira waggulu kubanga buli abayizi lwe babituula, obubonero obuvaamu buyamba abasomesa okuzuula abayizi we batannaba kutereera bulungi era bakwatawo.