Ebikwekweto ku masomero agatalina bisaanizo mu disitulikiti y’e Wakiso byongedde okunyinyitira , ng’agawerako gaggaddwa wakati mu kulaajana eri abagaddukanya. Kyokka wakati mu kikwekweto waliwo essomero gye basanze omusomesa omusajja nga yeegalamirizza mu kisulo ky’abayizi abawala.