Vidiyo

Abaalimbye omukozi w'awaka ne babba ebintu n'emmundu poliisi ebakutte!

Abantu babiri abagambibwa okulumba amaka e Mukono ne babba pisito, obukadde 10 ne ttivvi 3, bakwatiddwa.

Abaalimbye omukozi w'awaka ne babba ebintu n'emmundu poliisi ebakutte!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu babiri abagambibwa okulumba amaka e Mukono ne babba pisito, obukadde 10 ne ttivvi 3, bakwatiddwa.

Mu kikwekweto ekikoleddwa, era poliisi ezudde emmotoka ekika kya Noah nnamba UAT 767 K ne pikipiki nnamba UMA 820 GM, ebigambibwa okweyambisibwa mu bunyazi buno wamu n'ebizibiti ebirala.

Obubbi buno, bwabaddewo nga July 1 mu Upper Nabuti e Mukono, ababbi bwe baalimbye omukozi w'awaka nti boss yabadde abatumye ttivvi okugitwala bagikanike naye ne babba ttivi 3, ssente n'emmundu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti emmundu eno omuli amasasi 17 , bagizudde n'ebimu ku bintu ebyabadde bibbiddwa  era ng'omuyiggo gw'abalala, gukolebwa.

Tags:
Poliisi
Kukwata
Kubba
Bintu
Mmundu
Mukozi
Waka
Mukono
Nasuuti