Abantu 14 bafudde n'abalala 28 ne balumizibwa mu kabenje bbaasi bw'etomereganye ne lukululana ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.
Kigambibwa nti dsereeva wa bbaasi abadde agezaako okuwonya ow'ebigere, kwe kumulemerera n'atomeregana ne ttuleera.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso okuzuula ekyavuddeko a Kabenje.