Minisita w’emirimu n’entambula Fred Byamukama akawangamudde nti omulimu gw’okuzimba oluguudo lwa Busega Mpigi express way gwakuwemmenta ttuliriyooni 2 n’omusobyo okuva ku nsimbi ezaasooka okubalirirwa.Kino Byamukama agambye nti kyawalirizza Pulezidenti Museveni okulagira kaliisoliiso wa gavumenti okutandika okubanoonyerezaako.