Abayizi abaasimattuse akabenje ku King David Jr School bakomezeddwawo e Kampala
Abazadde olufunye amawulire g’abaana baabwe okugwa ku kabenje e Kapchorwa, bakungaanidde ku ssomero lya King David e Ndejje okufuna amawulire ku baana baabwe n’embeera gye balimu.Akola nga minisita ow’ebyenjigiriza Dr. JC Muyingo atuuseeyo n’abasaasira era alagidde essomero lino liggalwe okumala wiiki bbiri nga bwe bakola okunoonyereza n’okugumya abakyalimu ensisi.
Abayizi abaasimattuse akabenje ku King David Jr School bakomezeddwawo e Kampala