Omwana omu afiiriddewo n’abalala ne nnyaabwe ne baddusibwa mu ddwaliro nga biwalattaka oluvannyuma lw’okulya ebigambibwa okuba obutwa.Ekikangabwa kino kibadde ku kyalo Kimbejja ekisangibwa e Buddo mu Kyengerat tawuni kkanso nga bazuuliddwa omusomesa azze okulaba ekirobedde abaana okugenda okukola ebibuuzo.