Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemwogerere akuutidde abazadde okukuliza abaana baabwe mu ddiini n’okwongera okubasomesa basobole okufuuka ab’omugaso mu ggwanga. Okwogera bino abadde akuliddemu okuwa konfrimansiyo abayizi ba Joy Primary School e Masajja.