Vidiyo

Baraka ye munnayuganda yekka alondeddwa okuvuganya mu mpaka z'okuyimba e Nigeria'

Joshua Baraka ye muyimbi munnayuganda yekka eyalondebwa okuvuganya mu awaadi za ‘Headies’ ez’omulundi ogw’e 18 ezigenda okubeera mu kibuga Toronto ekya Canada mu mwezi gwa October.

Baraka ye munnayuganda yekka alondeddwa okuvuganya mu mpaka z'okuyimba e Nigeria'
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Joshua Baraka alondeddwa okuvuganya mu awaadi z’e Nigeria. Joshua Baraka ye muyimbi munnayuganda yekka eyalondebwa okuvuganya mu awaadi za ‘Headies’ ez’omulundi ogw’e 18 ezigenda okubeera mu kibuga Toronto ekya Canada mu mwezi gwa October.

 

Waakuvuganya n’abayimbi abalala okuva e Kenya, Tanzania ne Rwanda mu kibinja ky’omuyimbi asinze okukooka mu East Africa omwaka guno.

Ekibinja kye baamutaddemu

Ekibinja kye baamutaddemu

Awaadi zino ze zimu ku ezo ezirina amaanyi n’enkizo ku lukalu lwa Afirika okusinziira ku bagoberera ensonga z’okuyimba.

 

Ng’oggyeeko okuba nti zaatandika n’ekigendererwa ky’okukuza ebitone n’okusiima abalina kye bakoze, ziweebwa nnyo ekitibwa olw’entegeka, okuvuganya n’omusimbi omuyitirivu oguziteekebwaamu.

 

Empaka zino ensibuko yaazo eri mu eggwanga erya Nigeria era gye zaatandikira mu mwaka gwa 2006.

 

Wabula nga wayise emyaka, abategesi baakizuula nti abawagizi b’ennyimba za bayimbi abafirika bali kumpi buli wamu kwe kusalawo okutandika okusengula omukolo guno.

Baraka bw'afaanana eyalondeddwa

Baraka bw'afaanana eyalondeddwa

Baatandikira mu America mu kibuga Atlanta mu 2022 ne 2023 era ng’abategesi bakubirizza nnyo abagenda okuzeetabako okwambala mu engeri eggyayo ekifaananyi kya Afirika.

 

Jose Chameleon, Eddy Kenzo, Navio be bamu ku abayimbi abalala abaali bavuganyizzaako mu awaadi zino.

Tags:
Nigeria
Kukooka
Baraka
Joshua
Kuvuganya
Joshua Baraka

Emboozi Ezifanagana