Vidiyo

Ow'emyaka 17 abuziddwawo ab'emmotoka mu ngeri etategeerekeka ng'abazadde tebaliiwo!!

Bibadde mu Kibira cell A e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala, gye balumiriza abantu ababadde batambulira mu mmotoka bwe bamukimye awaka, ne bagenda naye ng'abazadde tebaliiwo.

Ow'emyaka 17 abuziddwawo ab'emmotoka mu ngeri etategeerekeka ng'abazadde tebaliiwo!!
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

Omwana ow'emyaka  17 abuziddwawo abantu abatannamanyika era nga mu kiseera kino, abazadde bali mu kuwanjaga.

Bibadde mu Kibira cell A e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala, gye balumiriza abantu ababadde batambulira mu mmotoka bwe bamukimye awaka, ne bagenda naye ng'abazadde tebaliiwo.

Omwana ye Remimah Nassanga 17 ng'abadde asoma S4.  Faridah Nankumba agamba nti ye nnyina w'omwana ono, yaguddewo omusango ku poliisi y’omu Kikajjo Namasuba nga guli ku ffayiro Ref number  16/26/08/2026 ng'okumunoonya, kugenda mu maaso.

Tags:
Myaka
Kubuzibwawo
Mmotoka
Bazadde