Omuwendo abakyala kwe bazaalira mu disitulikiti y'e Bugiri gweraliikirizza abasawo n'abakulembeze, mu kitundu kino kumpi buli mukazi gw'olaba ali lubuto nga n'ekyennyamiza abasinga baana bato. Abasawo bagamba nti abakyala baagaana okwettanira enkola ya ffamire ppulaaningi nga batya okufiirwa obufumbo.