Waliwo Ssaalongo alaajanidde abakola ku nsonga z’amaka okumuyambako okumuddinganya ne Nnaalongo we ng’okuva lwe yamukyawa obulamu bwe bwacankalana. Agamba nti wadde Nnaalongo yabaliga n'azaala abaana babiri mu musajja omulala ye akyamwetaaga. Bino biri mu disitulikiti y’e Kayunga.