TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obukodyo 8 obunaakuyamba okubbulula bizinensi ekulemeredde

Obukodyo 8 obunaakuyamba okubbulula bizinensi ekulemeredde

Added 21st March 2012

ABASUUBUZI bangi mu bizinensi ez’enjawulo balemererwa ne baggwaamu ng’obuzibu buva ku nsimbi ate abamu ne balemwa okuddamu okusituka.

Bya FRED KAYONGO


ABASUUBUZI bangi mu bizinensi ez’enjawulo balemererwa ne baggwaamu ng’obuzibu buva ku nsimbi ate abamu ne balemwa
okuddamu okusituka.

John Baptist Ssenfuma, omusuubuzi mu katale ka Park yard omu ku basuubuzi abafiiriziddwa enfunda eziwera mu muliro oguzze gwokya akatale ka Park Yard - Omuliro.

Agamba nti, yeeyambisizza obukodyo obw’enjawulo n’asobola okusigala mu bizinensi ate n’okusigaza bakasitoma nga bwanoonya n’abalala. Era alaga ebimu ku by’akola okusobola okuzzaawo bizinensi ye:

1. Okubeera n’amazima kikulumu bizinensi kuba ne bwegwa ng’oyagala okugizzaawo bakasitoma bo be bamu ku bakuyamba
okuyimuka. Ekirala n’abakusuubuza ebyamaguzi olw’okukumanya ng’ow’amazima nabo basigala bakuwa emmaali n’osobola okutunda nga bw’obasasula mpolampola.

2. Kozesa amazima mu buli ky’okola naddala ku bakasitoma bo. Ekimu ku bisuula bizinensi kwe kulimbalimba abaguzi abandikufunidde abalala bwe bakimanya nti oli waamazima. Bw’oba otunda ngatto kirungi okumubuulira enjawulo ezirimu n'ebbeeyi olwo lw’ajja okukwesiga akuleetere ne banne ekikuyamba okukukuumira ku bakasitoma. Ne bw’oba oli mu buzibu be bakuwagira n’osobola okwennyulula.

3. Bw’olaba kasitoma ayagala okukugulako alamuza kino na kiri omanya nti ky’ayagala okugula takimanyi era kiba kirungi okumuyambako n'omanya ky’ayagala n’omuguza ekyo. Omuntu ow’engeri eno ne bw’adda nga toli mu mbeera nnungi era akugulako n’akuleetera n’abalala okukuwagira wadde oli wabi.

4. Okukuuma ebiwandiiko mu bizinensi kirungi naddala ng’ofunye obuzibu kuba bw’ogenda mu basobola okukuyamba by’olagayo ne basinziira okwo okukudduukirira.

5. Tosirikira kizibu, kuba mu b’obuulirako mwe muva akuwa amagezi agannyulula bizinensi yo ng’egudde oba ng’eyuuga.

6. Tokyusakyusa bizinensi kuba bwe weesiba ku eyo gy’obaddemu omanya eky’okwewala n’okukola kuba oba obiyiseemu.

7. Osobola okukyusa erinnya kuba oluusi ky’otuuma bizinensi kisobola okugisuula. Giwe erinnya eriraga nti oli muwanguzi.

8. Weewale okuddukira mu kwewola buli kiseera kuba ensimbi zino zibaako amagoba mangi ate bizinensi bw’eba egwa tosobola kugifunamu magoba gasasula ate n’osigaza ne kapito agiyamba okukula

Obukodyo 8 obunaakuyamba okubbulula bizinensi ekulemeredde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...