TOP

Katwe 'made' ayingidde mu supamaketi

Added 28th August 2013

OBADDE okimanyi nti amaseppiki, ebbinika, minzaani n’ebirala by’ogula mu supamaketi n’amaduuka mu akeedi ezitali zimu ku butitimbe bwa ssente ng’olowooza oguze bikolebwa Bazungu by’ebyo ebikolebwa Bannayuganda wano mu Kisenyi?



Bya HERBERT MUSOKE
OBADDE okimanyi nti amaseppiki, ebbinika, minzaani n’ebirala by’ogula mu supamaketi n’amaduuka mu akeedi ezitali zimu ku butitimbe bwa ssente ng’olowooza oguze bikolebwa Bazungu by’ebyo ebikolebwa Bannayuganda wano mu Kisenyi?

Bannayuganda abaali batwalibwa okukola ebintu eby’omutindo ogwa wansi (Katwe) kati baakulaakulana ne batuuka ku ddaala w’otoyinza kumanya nti ky’oguze be bakikoze.
Wabula olw’abaguzi okuba nti beeyunira by’ebweru bingi biteekebwako obupapula obulaga nti si bya wano.

Laban K. Ssenyonjo owa Sejula Company Ltd, ayokya ebyuma agamba nti, abaweesi abakola ebintu bingi ebitundibwa mu akeedi n’amaduuka amanene agamu mu Kampala ne mu bibuga ebirala mu ggwanga bali mu Kisenyi mu Kampala kyokka nga kati baalinnyisa omutindo era basobola okuvuganya n’ebiva ebweru w’eggwanga.

“Bingi biteekebwako obupapula obulaga nti si bya wano kuba Bannayuganda tebagula bintu bikoleddwa wano.

Amaseffuliya, ebbinika, ppaasi, minzaani, obuuma obukola emisubbaawa, essigiri, ebijiiko ne wuuma, obuuma obufumba ebiberenge ebitulise, obusa ebinyeebwa, bookya amadirisa, enzigi, ggeeti, entebbe, obwambe, obutiba obukola ebintu eby’enjawulo (Mould) n’ebirala.

Ekisinze okuzing’amya omulimu gw’obuweesi mu Uganda be Bannayuanda abalowooza nti ebintu ebiweesebwa kuno bya mutindo gwa wansi era tebasobola kubigula olwo abasuubuzi ababitundira mu maduuka abagezigezi ne babissaako obupapula n’obubonero obulala obulaga nga bwe bikoleddwa mu mawanga g’ebweru nga China, Italy, Taiwan n’awalala ne babaggyamu omudidi.

Okwegatta
Gavumenti n’ebibiina ebigabi by’obuyambi bakubiriza abantu abakola omulimu ogumu okwegatta kyokka bo abaweesi bagamba nti tebalina kibiina ky’awamu kibagatta.

Abaweesi bano balina ebibiina okusinziira ku kifo we bakolera, nga babikozesa kuyambagana mu bizibu ebitonotono nga mu kufiirwa, okulwaza, okufuna akabenje n’ebirala.

Ssentebe w’abasuubula ebyuma ebikadde mu Kampala, David Kizito agamba nti obuzibu obukyalemesezza okussaawo ekibiina eky’awamu bwa kuba nti abasinga balowooza nti abaleese ekirowoozo eky’engeri eno babeera beenoonyeza byabwe.

“Okutandika ekibiina ky’ekika kyonna olina okusaba bammemba okusasula ate nga ssente zino tezigenda kuba nnyingi naye bw’afuna ekizibu asasudde 20,000/- ayagala kumuwa 2,000,000/-, bwe kigaana olwo ng’enkaayana zitandika”, Kizito bw’agamba.

Agamba nti, nga bo abasuubula ebyuma ebikadde ebigulwa abaweesi balina ekibiina kyabwe wabula bateekamu ssente eziwera kuba asemba okuba ne kapito omutono alina wa 500,000/-.

Ate Jackson Okoth, omukozi w’amaseppiki mu Kisenyi agamba nti baakoowa ebibiina ebigamba okubagatta bonna kuba ababitandikawo babakozesa kwefuniramu byabwe nga ssekinnoomu.

“Abantu bangi abazze nga batugamba nga bwe balina ekibiina kye batandiseewo okutugatta ng’abaweesi kyokka tugenda okumaliriza nga tetulina kye tufunye okuleka okufiirwa obusente bwaffe bwe tusasula okufuuka bammemba n’okwonoona ebiseera nga tugenda mu nkung’aana”, Okoth bw’agamba.

Ye Jackson Bagonza, mmemba w’abaweesi abalina ‘workshop’ mu kisenze - Muzaana zooni, agamba nti waliwo abaali babaleetedde ekibiina ne babagoba nga balaba bagenda kubabba bubbi.

“Abaweesi tuli ba njawulo ate nga buli bamu balina ebizibu eby’enjawulo n’olwekyo kiba kizibu nnyo okugamba nti omuntu agenda kutandikawo ekibiina ekitugatta ffenna kuba tamanyi buzibu bwa buli muntu.

Okugeza abakola amaseppiki twagala ettaka n’amazzi, abasala ebyuma baagala ekifo ekigazi abookya, ebyuma nabo balina byabwe”, Bagonza bw’agamba.

JUAKALI General Molders and Fabricators Association
Kino ky’ekibiina ekyali kitandikiddwa okugatta abaweesi mu ggwanga kyokka buli lukya kiggwaamu amaanyi.

Abdur Ssempala, omumyuka wa ssentebe w’ekibiina kino agamba nti ekyennyamiza be baweesi abalowooza nti ekigendererwa ky’abakulira ekibiina kya kubabba.

Annyonnyola nti, ekibiina kino kyatandikibwa emyaka 14 egiyise ne bammemba 200, wabula kati basigadde 150 bokka kuba bammemba baagala kusooka kufuna nga tebannassaamu.

“Twatandika n’ekigendererwa ky’okufuna eddoboozi ery’awamu ng’abaweesi tusobole okutuusa obuzibu bwaffe eri abakwatibwako batuyambe wabula bammemba abamu baagala kwekolera kaabwe ekiremesezza emirimu gy’ekibiina okutambula.

Olw’obuzibu buno twegatta ku kibiina kya Katwe Small Scale Development Association (KASDA), ng’eno twasasulayo obwammemba wabula abakisingamu bookya byuma (wolodingi).

Katwe ‘made’ ayingidde mu supamaketi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapoliisi nga baggya ente mu mmotoka mwe yabadde eteereddwa okukusibwa.

Poliisi ebasuuzizza mmotoka...

ABASAJJA basatu abateeberezebwa okubeera ababbi b’ente baakiguddeko bwe beesanze ng’ekkubo lye babadde bakutte...

Ennyumba ya Nakiberu  eyakoneddwa.

Bakanyama bakoonye enju y'o...

OMUTUUZE ali mu maziga oluvannyuma lwa bakanyama okukkakkana ku mayumba ge ne bagamenya n’okwonoona ebintu bye...

Batwala ng’alaga ennyumba ye eyatundiddwa.

Omupangisa atunze ennyumba ...

Ssentebe wa disitulikiti alumirizza omupangisa okutunda ennyumba ye gy’abadde yamupangisa era olumaze n’asibamu...

Ttakisi yasibidde ku mulyango gwa ssomero.

Babiri bafi iridde mu kaben...

ABANTU babiri baafi iriddewo n’abalala musanvu ne batwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bafunye ebisago, ttakisi...

Eby'omulambo gwa Looya eyaf...

Bya Stuart Yiga OMULAMBO gwa munnamateeka Bob Kasango eyafiiridde mu kkomera e Luzira ku Lwomukaaga oluwedde...