TOP

'Engatto zaatuwonya okunoonya emirimu'

Added 18th June 2014

Abavubuka abeegattira mu Kabowa Crafts Workers’ and Development Services be bamu ku basazeewo okubaako ebintu bye bakola okumalawo ebbula ly’emirimu.



Bya VIVIEN NAKITENDE

ABAVUBUKA be basinze okukosebwa ebbula ly’emirimu era abamu beekalakaasizza, abalala beggye mu bulamu bw’ensi n’abandi beenyigidde mu bumenyi bw’amateeka omuli n’okuzannya zzaala.

Wabula mu buzibu buno, waliwo abamu abakozesezza emitwe gyabwe okuyiiya emirimu egibayimirizzaawo.

Abavubuka abeegattira mu Kabowa Crafts Workers’ and Development Services be bamu ku basazeewo okubaako ebintu bye bakola okumalawo ebbula ly’emirimu.

Bano beekolamu omulimu ne batandika ekibiina ekikola engatto z’abakyala n’abaami, ensawo, enkoofiira, emisipi, ebyokwewunda by’abakyala, n’ebirala bingi.

Wabula mu kukola kino buli omu yali alina omulimu gw’akola nga bino babikola kawungeezi nga bannyuse basobole okwongeza ku nnyingiza yaabwe. Ekyewuunyisa kati ebirala baabita batwale omulimu guno mu maaso kuba gufuna.

NNAKOMA MU S6 NE NSOMA EBYEMIKONO
Abdul Ssemanda, akulira abavubuka bano abasoba mu 20 agamba nti bwe yamaliriza S6 teyeeyongerayo wabula yagenda e Kenya n’asoma okukola engatto, okuluka emikeeka n’obusero n’okukola ebyokwewunda by’abakyala.

Mu 2007, nnatandika okugula n’okutunda ebintu ebikadde oluvannyuma lw’okugezaako emirimu egy’enjawulo omwali okuweerezaako mu dduuka erimu, okutunda ebyokulya (eno gye nnafuna ssente okugula ebintu ebikadde ebitaatambula bulungi ne ndowooza ku ky’okukola ekirala).

Mu 2010 nagenda e Kenya okusoma emirimu gy’omu mutwe ne mikwano gyange ne tumalayo emyezi mukaaga, era ng’enda okudda nga njize okukola ebintu bingi, era awo ne ndowooza ku ky’okutandikawo kampuni.

Ng’omu nnali sisobola kwe kukunga bannange ne mbayigiriza era olwayiga ne tutandika ekibiina kyaffe.

TWATANDIKA NA 300,000/-
Twasooka ne tusonda ssente buli omu ze yali asobola era mu March wa 2013 twaweza 300,000/- ze twatandika nazo ng’ebintu tusuubula bitono n’okwewola ebimu. Mu myezi mukaaga, bizinensi yaffe yali yeeyongeddeko ng’abantu batandise okutuwagira.

Mu 2013, kansala omukyala owa Kabowa ku Ggombolola Muky. Jane Nakitto yatutegeeza nga bwe waliwo ssente z’abavubuka ez’okwekulaakulanya n’atuyamba okwewandiisa mu mateeka ne tussaamu okusaba kwaffe.

Ku nkomerero ya 2013, twaweebwa obukadde butaano okwekulaakulanya. Ssente zino zituyambye okugaziwa kuba kati ebintu tusuubula mu bungi era bizinensi etambulira mu bukadde obusoba mu 15.

Jane Nakitto, kansala w’abakyala e Kabowa agamba nti abavubuka bano buli omu yasooka kutetenkanyiza wuwe kyokka oluvannyuma ne bakola ekibiina ne batandika okutunga engatto.

Bwe yakizuula nga balina ekigendererwa yabayamba ne bafuna ssente z’abavubuka era kati bizinensi yaabwe egezze.

Ate Ssentebe wa Zooni ya Sembule abavubuka bano mwe bakolera, Abaasi Ssematimba agamba nti, abavubuka bano baawufu nnyo ku balala. Balaze omutima gw’obukozi okuva mu buto kuba bakulidde mu kitundu kino.

Baakimanga amazzi ne bafuna ssente, kale bwe ndaba nga batandise bizinensi mbeenyumirizaamu, kuba bagabidde ne bannaabwe abalala emirimu.

‘BAASOOKA KUSUUBUZA 150,000/- N’OKWEWOLA’

Muky. Josephine Nazziwa nnannyini dduuka lya Nazziwa Enterprises e Katwe ng’atunda amaliba n’ebikozesebwa mu kukola engatto abavubuka bano gye bagula amaliba agamba nti, “Abaana bano baatandika n’okusuubula ebintu bitono ddala nga tebiweza 150,000/- nga buli kintu batwala mu kamu kamu wabula mu kulaba kwange nga kye bakola bakyagala kuba oluusi bajjanga ne basuubula emirundi egisukka mu gumu olunaku nga bibaweddeko.

Oluusi baatwalanga bya bbanja, olw’okuba nnali mbalabye nga beesigwa ate abakozi nnabawolanga ne bansasula nga bamaze okutunda.

Nnagenda okulaba nga bongezaako ku bungi bw’ebintu bye batwala. Ku nkomerero ya 2013 abaatwalanga kamu kamu baatandika okusuubula bandi eziwera 20 nga buli emu ngitunda 300,000/- ekitegeeza nti kati basuubuza ssente eziri mu bukadde mukaaga.

EBIKOZESEBWA
Amaliba, emisipi, obutiiti, ebipapula, ggoozi ne ggaamu.  Ate ebirala ebikozesebwa ku bintu bye tukola omuli emikeeka n’obusero kuliko: Ebyayi, obuseke, ensansa, obukeedo. Bino tubigula ewa Nazziwa ne mu Kikuubo.

AKATALE
Ssemanda agamba nti, baakola edduuka mu kibuga ku kizimbe kya Nana Arcade nga waliyo munnaabwe alibeeramu okusuubuza n’okuguza bassekinnoomu.

Balina n’abavubuka be bakozesa abatambuza engatto zaabwe mu bitundu ebitali bimu.

Engatto zitundibwa wakati wa 7,000/- ne 10,000/- okusinziira ku nkola yaazo, era nga bakola engatto ez’abakulu n’abato, ez’abasajja n’abakyala.

MU WIIKI TUYINGIZA  AKAKADDE
Bwe tukola ffenna, olunaku tutunga emigogo gy’engatto 100. Mu wiiki bayingiza wakati wa 1,000,000 ne 2,500,000/- okusinziira ku ngeri ebintu gye bibeera bitambuddemu.

Amaanyi ge gatusalako naye ng’emirimu ne bakasitoma abalagiriza ebintu byaffe weebali.

BYE BAFUNYEEMU
Claire Nakabugo akola ku byensimbi, agamba nti amagoba ge bafuna bagagabanya kyenkanyi n’okuterekako ez’ekibiina okwongera okwekulaakulanya.

Hakim Mwesigwa, mmemba agamba nti tasobola kukaaba ssente za kusasula nnyumba azifuna mu ngatto.

Justine Namwanje, muyizi ate mmemba agamba nti kimuyambye okwetuusaako bye yeetaaga mu kusoma nga tatawaanyizza bazadde.

Abdu Ssemanda, agamba nti ogw’okutunda ebikadde kati  yagulekamu bantu balala ng’okukola engatto kati gwe mulimu gwe omukulu.

Margaret Nakalule, omuwandiisi mu kibiina agamba nti bizinensi yaabwe ebakoledde emikwano mu bantu ab’enjawulo nti era bano be bakasitooma baabwe. Basomesa n’abo abeetaaga okuyiga.


OKUSOOMOOZEBWA
Sarah Nakalyango, mmemba agamba nti obuzibu bwe basinga okufuna bwa bikozesebwa okubeera ku buseere kyokka nga bakasitoma baagala kutwalira ku ssente ntono.

N’abantu abamu oluusi beekwata engatto kyokka ne batazinona ng’ate wabaawo abazeetaaga olwo ne batukaluubirizaamu.

 

 

‘Engatto zaatuwonya okunoonya emirimu’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...