TOP

Bizinensi 7 ezifuna mu kisiibo

Added 25th June 2014

OMWEZI gw’ekisiibo ky’Abasiraamu bwe gutuuka bangi abali mu bizinensi bakaaba obwavu ne balemwa n’okuyiiya nga beekwasa nti era tebijja kutambula ekikyamu.




Bya ISMAIL K. DDAMBA
OMWEZI gw’ekisiibo ky’Abasiraamu bwe gutuuka bangi abali mu bizinensi bakaaba obwavu ne balemwa n’okuyiiya nga beekwasa nti era tebijja kutambula ekikyamu.

Wabula ky’olina okumanya nti, enswa bw’ekyusa amaaso nga naawe okyusa envubo. Wadde nga waliwo abakikaaba naye waliwo abakyesunga kuba kibakolera.

Omukyala ng'atunda ebibala

BIZINENSI EZITAMBULA
Waliwo emirimu egisinga okufuna ekirala mu kisiibo era nga bw’ogikola bakasitoma bakweyunira ekisibo n’okiyitamu bulungi nga tokaabye bwavu.

1 Obusiraamu tebukkiriza mulwadde kusiiba, wadde ng’abakkiriza abamu bawaliriza ne bakikola olw’okufuna empeera.

N’olwekyo abalwadde ba alusa ne ssukaali bagula eddagala okwekuumisa baleme okukosebwa nga basiiba, era abatunda eddagala abakkirizibwa bandiriguze.

2 Emisaalo, amakanzu, hijaabu n’ebyambalo by’ekiyisiraamu ebirala bitambula nnyo. Kiri kityo lwakuba abantu bangi bwe batuuka mu kisiibo bagula engoye empya ezituukira ku budde buno.

3 Obuwunga n’eng’ano: Emmere ng’amatooke, omuceere n’endala eteri nkalu Abasiraamu tebagikozesa nnyo mu biseera by’ekisiibo kuba terwa mu lubuto. Beeyunira mmere enkalu nga capati, akawunga, lumonde ne muwogo.

4 Ebibala ng’amenvu, wootameroni, emiyembe n’ebirala ng’oggyeeko ennaanansi Abasiraamu bye basiibulukukirako engeri gye biba ebiweweevu ate ebigonvu.

Omusubuuzi mu katale k’e Kibuye, Halima Nakiyaga agamba nti amaze emyaka munaana mu mulimu guno era ategeeza nti mu kisiibo ebibala bitambula era tojulirira mulimu mulala.

Abatunda lumonde mu katale.

5 Ebyokunywa: Omubisi gw’obutunda, emicungwa n’ebyokunywa ebirala nabyo mu kisiibo bitambula bulungi. Hamza Luwagga agamba nti, ye akyuka na mbeera. “Ntunda sukaali naye mu kisiibo nsuubula butunda oba bibala kuba bibeera ku katale okusinga bulijjo.” Ate okusoma bwekuba kutandika nsuubula bitabo by’abaana.

6 Entende kibala ekisinga okusuu bulwa e Saudi Arabia ne mu nsi ez’eddungu nga Misiri, N. Sudan ne Libya naye nga kiriibwa nnyo Abawarabu n’Abasiraamu naddala mu kisiibo.

Ekibala kino ekikifuula eky’ettunzi mu mwezi guno kyawandiikibwako ne mu Kulaani era kyogerwako ng’Omubaka Nabbi Muhammad (S.A.W) kye yasiibulukukirangako nga tannalya birala. Ekirala kikwata ne mu lubuto.

7 Ebitabo by’Obusiraamu ne firimu ebiraga ebyafaayo by’Obusiraamu babigula nnyo era ababitunda babeera mu ssente naddala ng’olina obutambi, era atabulina bunoonye.

Ebibala n’emmere ebyeyunirwa mu kisiibo wonna w’obitundira bibeera ku katale kubaabasiiba n’abantu abalala yonna babeerayo.
 

Bizinensi 7 ezifuna mu kisiibo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....