TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebintu ebikulu 9 by'oba otunuulira bizinensi yo eyitimuke mu 2015

Ebintu ebikulu 9 by'oba otunuulira bizinensi yo eyitimuke mu 2015

Added 7th January 2015

Ggwe ayagala okuba n’omwaka omupya ogwenjawulo muby'obusuubuzi , nga mulungi okusinga gw’ovuddemu weetegereze bino wammanga:

Omwaka omupya gutandika naye bingi bye tuyiseemu mu mwaka omukadde naawe by’olaba nti bikuleetedde obutatambuza bulungi mirimu naddala ogw’obusuubuzi.
Ggwe ayagala okuba n’omwaka omupya ogwenjawulo muby'obusuubuzi , nga mulungi okusinga gw’ovuddemu weetegereze bino wammanga:

Hajji Jamil Ssebalu, mukugu mu byenfuna

BY’OFUNYE MU MWAKA OMUKADDE

Kirungi okwetegereza by’ofunye naddala ng’osinziira bwe wali omwaka oguwedde ne w’oli kati mu byenfuna. Kino okukituukako obulungi otunuulira ssente ze walina mu buliwo, mu bbanka, abakubanja, b’obanja, wamu n’ebintu ebikalu bye walina.

Bino byonna bw’obyekkaanya obulungi, bikuwa ekifaananyi ekituufu wa w’oli kati era ne kikuyambako ng’osalawo wa w’oyagala okugenda mu mwaka guno omupya.

EBIGAANYE

Buli mwaka gubeera n’ebintu by’osobodde okukola obulungi wabula n’ebyo ebigaanye.
Nga tutunuulira ebigaanye, tubyawulamu ebitundu bisatu (3).

1 Ebigaanye nga waliwo essuubi nti bijja kusoboka singa oyongeramu amaanyi oba oluusi ssente.

2 Ebigaanye nga ne bw’okola ki tewali kisobola kukyuusa mbeera.

3 Waliwo ebigaanye naye nga birabika byetaaga okuwa akaseera oba ebbanga erimala bitereere era obiwangule.

Bw’otunuulira ensonga zino waggulu, nnaalikusabye obuteesiba ku nsonga yaakubiri n’eyookusatu. Sooka ekintu ky’olaba naawe nti ne bwotooteekemu maanyi mangi osobola okukiwangula. Olwo olyoke odde ku bintu ebirala.

OBUDDE

Kendeeza obudde bw’omala nga tokola. Kituufu okuwummula naye ennaku zino okufuna akasente ate weetaaga okole nnyo. Abo banno tebakuyinula kubanga abasinga tomanyi gye baggya ssente.
Nja kukuwa ekyokulabirako ekyensi bbiri ezirimu obutabanguko wano mu Afrika era Uganda y’egezaako okuziyamba.

Bannansi b’ensi zino bangi nnyo wano era abasinga tebakola. Obasanga batudde mu wooteeri ez’ebbeeyi, balya bulungi era balina buli kirungi kye wandyagadde.

Kizuuliddwa nti bano abasinga balina bannaabwe ebweru ababaweereza ssente, kale tebeetaaga kukola kubanga buli kye baagala bakifuna. Bw’obeeteekako oba mukyamu.

Kendeeza obudde bw’oggalawo n’okugenda mu mikolo egy’enjawulo. Jjukira olunaku olugenda terudda era buli kaseera tukaddiwa. ‘’Akajja obunaku keemanya”.

Amabanja ye nnabe asinga okusuula bizinensi

ABAKUBANJA NE B’OBANJA

Weetegereze ensonga zino waggulu kubanga zombi zisobola okutaataaganya omulimu gwo.

Omulimu tegwandibadde na bantu bangi abagubanja. Amabanja malungi naye bwe gasukka oluusi gayinza okukuleetera obuzibu naddala ago g’ofuna nga galiko okuddizaamu amagoba. Amagoba gano bwe gagenda geetuuma gayisa ssente ze weewola.

Ssente z’ebbanja ziyamba naye ate bwe ziyitirira ate zikumalako emirembe n’otambula nga weekweka oba n’ofuuka omulimba.

Funa amabanja gokka g’osobola okusasula.

John Kakyope (ku kkono) n’abamu ku bakozi be nga batunga engatto.

Tomala gafuna mabanja kuba abalina ssente bakkiriza okuzikuwa, nedda. Kimanye, nti abakubanja basobola okufuna obuyinza mu kkooti ne bawamba ebintu byo kasita bagimatiza nti toli musasuzi mulungi. 

Kkooti bw’ebawa olukusa okuwamba oba okubowa, era ebawa n’olukusa okutunda okutuusa lwe banaalaba nti ssente ze bafunye mu bye baboye zibamala okusasula ebbanja ne bawannyondo. 

Gye biggweera ng’eyeewola 100,000/- osasudde 1,000,000/-.

OKUWOLA NAKYO KISUULA BIZINENSI

Omutendera omulala gwegwo ogw’abantu b’obanja. Kirungi okugaba amabanja naye ate bwe gayitirira era gazing’amya omulimu. Bw’osalawo ofuuke muntu mulungi nnyo nga buli akusaba  ebbanja gw’owa, kituufu abantu bajja kusanyuka. Naye jjukira nti baagala alina. Bwe zirikuggwaako nga badduka.

EMISOLO

Faayo nnyo okumanya bw’oyimiridde mu misolo egy’enjawulo gy’olina okusasula, ggwe ng’omuntu ate ne kkampuni.

Emisolo gya njawulo okusinziira ku by’okola. Ate era, egisinga gigwerako mu biseera bya njawulo. Naddala egya Uganda Revenue Authority (URA). Waliwo egigwaako nga 31, 12 ….. ate emirala tegituukayo.

Jjukira, amateeka agateekawo emisolo egisinga, era gagiwa n’obuyinza obuvunaana oyo yenna aba tasasudde. 

Bwe batatuukiriza kino, wabaawo ensaasaanya ya ssente ekolebwa okukituukiriza era ng’etteeka lyasalawo nti ggwe wandibadde omutuufu okusasulira enteekateeka eno.

Kale munnange omusolo gw’otosasudde oluusi gye biggweera ng’osasudde ezisingawo.

SITOOKA 

Tokuuma lubugo nga lubaale mubbe. Bala buli kintu kyonna ekiri mu bizinensi yo. Kino bakiyita “Stock taking” era abazungu bangi nga tebannagenda kuwummula basooka kwetegereza ebintu ebiri mu bizinensi byenkana wa? Omugatte mu ssente ogw’ebintu ebiriwo ddala gwenkana ebintu ebiriwo oba waliwo enjawulo?

Okubala ebintu kikuyamba n’okumanya kiki ekikendedde ky’oba oleeta, n’otomala gasalawo kubanga oluusi ojja kuleeta ebintu ate by’olina mu sitooka.

Kkampuni ezikozesa kompyuta, sitoowa ne we zitundira, kino kibanguyira kubanga buli kaseera asobola okumanya bw’ayimiridde era n’asobola okusalawo obulungi.

 Faayo okumanya ky’olina buli kaseera oleme kukuuma lubugo ate nga lubaale mmye.

 

Ebintu ebikulu 9 by’oba otunuulira bizinensi yo eyitimuke mu 2015

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...