TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Ssente ze nfunye mu kusiba enviiri zituwonyezza ekifulukwa'

'Ssente ze nfunye mu kusiba enviiri zituwonyezza ekifulukwa'

Added 4th February 2015

“OMULIMU gw’okusiba enviiri sigwejjusa olw’ebirungi bye ngufunyeemu”, bwatyo Harriet Nabukenya alina saluuni gye yatandikira mu bibaawo bw’atandika okunyumya ku mulimu gwe.

Bya SAMSON SSEMAKADDE


“OMULIMU gw’okusiba enviiri sigwejjusa olw’ebirungi bye ngufunyeemu”, bwatyo Harriet Nabukenya alina saluuni gye yatandikira mu bibaawo bw’atandika okunyumya ku mulimu gwe.

“Ndi mutuuze w’e Nsambya mu zooni ya St. Augustine era twali tupangisa Kabalagala ne baze Juma Kalyesubula gye twava mu 2000 nga tukooye obupangisa ne tusalawo okuyingira ennyumba yaffe gye twali twatandikako naye nga teyaggwa kikyali kifulukwa.

Ennyumba eno yali tennakubwa pulasita, nga teriimu madirisa, nga wansi ttaka era ng’omuntu atali mugumiikiriza yali tasobola kugisulamu kuba n’embeera gye nnali ne baze yali teyeesiimisa. Ekisooka yali talina mulimu nga nnina okuyiiya ng’omukyala nsobole okubeezaawo amaka gaffe.

ENVIIRI NNASOOKA  KUZISIBIRA KU LUBALAZA

Nnatandika okusiba enviiri mu 2001 nga nali nsibira ku lubalaza awaka we nsula we twali twakasengukira mu zooni ya St. Augustine, naye nga kuno nayongerezaako n’emirimu emirala ng’okutunda amatooke naddala emyeera, okusiika kabalagala ne muwogo.

Embeera teyali nnyangu kuba nnalina okubeezaawo famire yange ku ssente entono ze nnafunanga. Ku lubalaza, nnali sisasulirawo kuba waali wange era nnamalawo emyaka ena okuva 2001okutuuka 2005.

Awo mu 2005 nnasobola okuzimbawo akayumba ak’embaawo wabula nga ye saluuni ate era ly’effumbiro. Ekirungi bakasitoma bange baali banjagala era nga basiima bye mbakolera n’olwekyo mu mbeera eno baasigala bampagira.

We nnakolera tekyali kyangu kutereeza ssente kuba ebyetaago byali bingi, wabula nga nfuba okulaba nga buli ssente gye nnali nfuna ngikozesa bulungi n’okuzitereka. Nnalina akabokisi mwe nnasuulanga ssente zange era nga nfuba okulaba nti waakiri buli lunaku nsuulamu 3,000/-.

Mu kafumbiro nnakolerawo okuva mu 2005 okutuuka mu 2013 olwo ne nteesa ne baze ne tuzimbawo akayumba mwe twateeka saluuni gye nkoleramu kati.

Nabukenya  ng'ali ku nnyumba ye

Bwe nnayingira ekifo kino ekipya, tekyali kyangu kukifuula saluuni kuba nnali namanyiira lubalaza na kayumba ka mbaawo ng’ate kati nnali nninnye eddaala eriddako. Nnalina okussaamu ebintu ebyetagisa nsobole okusika bakasitoma abalala.
Ku ssente ze nnakung’aanyanga, nnafunako 300,000/- ne ngulayo ebizigo by’enviiri ebitonotono, kateni ezaali ez’okuteeka mu mulyango, ssaako obuviiri obwali obw’okutandikirako.

Olw’okuba ssente tezimala nnayiiya ne nteeka emikebe gy’ebizigo emikalu mu masa nsobole okulaga nti mbirinawo abantu baleme kugamba nti ekifo kikalu ate n’obutajja kugula bye nnalinawo.

ABAANA BANGE BASIBA ENVIIRI SSEETAGA BAKOZI

Okuzaala kujaagana kuba singa nnali sirina baana ba buwala ndowooza nnaalibadde mbonaaboona. Nnina abaana bana ng’ababiri bakyali bato, ate ababiri abakulu oluwummula bwe lutuuka nga ntandika okweyagala kuba mbeera mmanyi sigenda kuddamu kudaaga mu saluuni yange.

Bawala bange bano bakozi nnyo era nnabayigiriza okusiba enviiri, okuzinaaza n’okuziyooyoota, era ne bwemba siriiwo sseeraliikirira kuba mbeera mmanyi bizinensi egenda kutambula bukwakku.

Wabula bano buli lwe baddamu okusoma mbeera nkola nzekka era emirimu gibeera mingi. Wabula ngikwasaganya kuba nkeera annyo ne ntandika okukola era ne bwe nfuna bakasitoma abangi ennyo buli omu mmuwa obudde obumumala.

OKUSOOMOOZEBWA KWE NNAFUNA

Bwe nnali nkyakolera ku lubalaza nnafunanga obuzibu bw’enkuba kuba buli lwe yatonnyanga nga nnina okuyingira mu nju okusiba enviiriate ng’olwo abeetaaga okusiba tebakulaba bulungi.

 

‘Ssente ze nfunye mu kusiba enviiri zituwonyezza ekifulukwa’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...